Isaiah 30

Zirisanze Eggwanga Ejjeemu

1 a“Zibasanze abaana abajeemu,
Abakola enteekateeka ezitali zange ne bazituukiriza
ne batta omukago
Kino kyogera ku kutta omukago ne Misiri
awatali Mwoyo wange
ne bongera ekibi ku kibi,” bw’ayogera Mukama.
2 c“Baserengeta e Misiri nga tebanneebuuzizzaako,
ne banoonya obuyambi ewa Falaawo,
n’okuva eri ekisiikirize kya Misiri
okuba obuddukiro.
3 dNaye obukuumi bwa Falaawo buliswazibwa,
n’ekisiikirize kya Misiri kirikuswaza.
4 eNewaakubadde nga balina abakungu mu Zowani
n’ababaka baabwe batuuse e Kanesi,
5 fbuli muntu aliswazibwa
olw’eggwanga eritabagasa,
abataleeta buyambi newaakubadde okuba ab’omugaso,
okuggyako ensonyi n’ekivume,” bw’ayogera Mukama.
6 gObunnabbi obukwata ku nsolo za Negevu bwe buno:

Ababaka bayita mu nsi nga balaba ennaku
ne batawaanyizibwa
mu nsi erimu empologoma ensajja n’enkazi,
erimu essalambwa n’omusota ogw’obusagwa
nga batadde eby’obugagga byabwe ku ndogoyi,
n’ebintu byabwe eby’omuwendo ku mabango g’eŋŋamira
nga boolekedde ensi etaliimu magoba.
7Bagenda e Misiri, eterina kyeyinza kubayamba n’akatono.
Kyenva muyita Lakabu
ataliiko kyayinza kukola.

8 hGenda kaakano, okibawandiikire ku kipande,
okiwandiike ku mizingo,
kibabeererenga obujulizi
obw’emirembe n’emirembe mu nnaku ezigenda okujja.
9 iWeewaawo bano bantu bajeemu,
baana balimba, baana abateetegese kuwulira biragiro bya Mukama.
10 jBagamba abalabi nti,
“Temuddayo kufuna kwolesebwa,”
N’eri bannabbi boogera nti,
“Temuddayo kututegeeza kwolesebwa kutuufu.
Mututegeeze ebitusanyusa,
mulagule ebituwabya.
11 kMuve mu kkubo lino,
mukyame muve ku luguudo luno,
mulekeraawo okututegeeza
ku Mutukuvu wa Isirayiri.”
12 lNoolwekyo bw’ati bw’ayogera Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Olw’okugaana obubaka buno,
ne mwesiga okunyigirizibwa,
ne mwesiga omulimba,
13 mekibi kino kyekiriva kikufuukira bbugwe omuwanvu,
alimu enjatika era azimbye,
okutemya n’okuzibula ng’agudde.
14 nAlimenyekamenyeka mu bitundutundu ng’ensumbi eyakolebwa mu bbumba,
n’asaasaanyizibwa awatali kusaasira,
era tewaliba luggyo ku byamenyekamenyeka olulirabika
okusobola okuyoozesa omuliro mu kyoto,
oba okusenyesa amazzi mu kinnya.”
15 oWeewaawo bw’ati bw’ayogera Mukama Ayinzabyonna Omutukuvu wa Isirayiri nti,

“Mu kwenenya ne mu kuwummula mwe muli obulokozi bwammwe,
mu kusiriikirira ne mu kwesiga mwe muli amaanyi gammwe,
naye temufuddeeyo.
16 pWayogera nti, ‘Nedda tuliddukira ku mbalaasi.’
Kyoliva odduka.
Wayogera nti, ‘Tuliddukira ku mbalaasi ezidduka ennyo.’
Ababagoba kyebaliva bawenyuka emisinde.
17 qAbantu olukumi balidduka
olw’okutiisibwatiisibwa kw’omuntu omu;
Olw’okutiisibwatiisibwa kw’abataano,
olidduka,
Okutuusa lw’olisigala ng’omulongooti okuwanikibwa bbendera oguli ku ntikko y’olusozi,
ng’ebendera eri ku kasozi.”

18 rSonga Mukama ayagala nnyo okuba ow’ekisa gy’oli;
era agolokoka okukulaga okusaasira.
Kubanga Mukama Katonda wa bwenkanya,
balina omukisa bonna abamulindirira.
19 sMmwe abantu ba Sayuuni ababeera mu Yerusaalemi, temuliddayo kukaaba. Alikukwatirwa ekisa bw’olimukaabira ng’omusaba akuyambe. Amangwago ng’awulidde, alikwanukula. 20 tNewaakubadde nga Mukama akuwa omugaati ogw’okulaba ennaku, n’amazzi ag’okubonaabona,
keberako mu bitabo ebirala okwongera okunnyonnyolwa ebigambo ebyo
abasomesa bo tebaliddamu kukwekebwa, era olibalaba n’amaaso go.
21 vBw’olidda ku mukono ogwa ddyo oba ku gwa kkono, amatu go galiwulira eddoboozi emabega wo nga ligamba nti, “Lino ly’ekkubo, litambuliremu.” 22 wOlwo olyonoonayonoona ebintu ebyakolebwa n’emikono ebiriko ffeeza, n’ebifaananyi byo ebyabikkibwako zaabu, era olibisuula nga bw’osuula ekiwero ekikozesebwa mu nsonga za bakyala era olibigamba nti, “Muveewo.”

23 xAlibaweereza n’enkuba olw’ensigo z’osiga mu ttaka, n’emmere eva mu ttaka eggimu nga nnyingi. Mu biro ebyo ente zo ziririira mu ddundiro eggazi. 24 yEnte n’endogoyi ezirima ettaka zirirya omuddo ogwaterekebwa n’emmere ensotte, eyawewebwa n’ekitiiyo eky’amannyo. 25 zMu biro eby’okuttibwa okunene, emirongooti bwe girigwa, emigga gy’amazzi girikulukuta ku buli lusozi oluwanvu na ku buli kasozi akagulumivu. 26 aaOmwezi gulyaka ng’enjuba, n’omusana gulyaka emirundi musanvu okusinga ogwa bulijjo, ng’ekitangaala ky’ennaku omusanvu zonna awamu, Mukama bw’alinyiga ekinuubule ky’abantu be, n’awonya ekiwundu ky’abaakosebwa.

27 abLaba, erinnya lya Mukama liva wala
n’obusungu obubuubuuka n’omukka ogukutte ng’ekire;
emimwa gye gijjudde ekiruyi,
n’olulimi lwe muliro ogusaanyaawo.
28 acOmukka gwe guli ng’omugga gw’amazzi
agakulukuta n’amaanyi, agabimba okutuuka mu bulago.
Anyeenyanyeenya amawanga mu kakuŋŋunta ak’okuzikirizibwa
era mu mba z’abantu ateekamu eddobo ery’okubawabya.
29 adOluyimba luliba ng’olwo lwoyimba mu kiro ng’ojaguza ku mbaga entukuvu;
omutima gwo gulijaguza ng’abantu bwe bajaguza nga bafuuwa endere
ku lusozi lwa Mukama, ku lwazi lwa Isirayiri.
30 Mukama aliyamba abantu okuwulira eddoboozi lye ery’ekitiibwa,
alibaleetera okulaba omukono gwe nga gukka mu busungu obungi ennyo ne mu muliro ogusaanyaawo, ne mu bire ebibwatuka, ne mu muzira.
31 aeWeewaawo eddoboozi lya Mukama lirisesebbula Bwasuli,
alibakuba n’omuggo gwe ogw’obwakabaka.
32 afBuli muggo Mukama gw’anakukubanga
n’oluga lwe olubonereza,
guliba ng’ebivuga by’ebitaasa n’entongooli,
ng’abalwanyisa n’omukono gwe mu ntalo.
33 agWeewaawo Tofesi amaze ebbanga ddene nga yeeteekateeka;
ky’ateekebwateekebwa kabaka.
Ekinnya kyakyo eky’omuliro
kiwanvu era kigazi,
kijjudde omuliro n’enku;
omukka gwa Mukama
gugukoleeza ng’omugga gwa salufa.
Copyright information for LugEEEE